Psalms 17

Okusaba kwa Dawudi.

1 aWulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
2Nzigyako omusango;
kubanga olaba ekituufu.

3 bWeekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
4Ggwe, gwe nkoowoola,
ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,
ne neewala
ebikolwa by’abantu abakambwe.
5 cNnyweredde mu makubo go,
era ebigere byange tebiigalekenga.

6 dNkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;
ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
7 eNdaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa,
ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo
abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
8 fOnkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
9 gOmponye ababi abannumba,
n’abalabe bange abanneetoolodde.

10 hOmutima gwabwe mukakanyavu,
n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
11 iBanzingizza era banneetoolodde;
bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
12 jBali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo
era ng’empologoma enkulu eteeze.

13 kGolokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama,
oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
14 lAyi Mukama, mponya abantu,
abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi.

Embuto zaabwe zigezze,
obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe
ne bazzukulu baabwe.
15 mNze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu
era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.
Copyright information for LugEEEE